Obwegugungo obwaaliwo e Kampala gye buvuddeko bweyongedde okusajjuka. Ekibiina ekigatta bannamawulire mu Kenya kiwandiise ekibaluwa kyâolwaatu ku lwa munnamawulire Kalundi Serumaga eyakwatibwa mu biseera byâamasattira wiiki ewedde wano e Kampala:
Okukwatibwa kwâomuwandiisi, munamawulire era nga munnakatemba Kalundi Serumaga nga kwakolebwa mu bumenyi bwamateeka era nga kwakolebwa abantu abatamanyiddwa nga abebyokwerinda nga 11 Mutunda 2009 kintu kyantiisa nnyo eri eddembe lyâobuntu eryeyongera okusajjuka mu Uganda.
Okukwaatibwa kuno, nga mu mazima kwali kuwambibwa, wamu nâokutulugunyizibwa okwamutuusibwako, okuggalirwa mu bifo ebitamanyiddwa mu Kampala mu kiro kyâolwokutaano nâamakya gâolwomukaaga kyaali kityoboolera ddala ssemateeka wa Uganda nâolwekyo kijjamu ekinyusi emisango jonna egimuvunaanibwa.
Okutulugunyizibwa kwa Kalundi kyongera okwoleka akatyabaga ebikumi byabo abaakwatibwa mu kegugungo kano wiiki ewedde ke balimu.
kino kityooboola eddembe lyâokwogera wamu nâokwegazaanya ekityooboolera ddala eddembe lyâobuntu.
Ffe nga abawandiisi mu buvanjuba bwa Afirika tukubira omulanga zi gavumenti zonna mu kitundu wamu nâaba ebweru okuteeka gavumenti ya Uganda ku nninga okulaba nti mwaami Serumaga wamu nâabalala abali mu busibe bayimbulwa era nâemisango egibagwetekeddwako gikome.
Weyongere okusoma…
Bannamawulire Begasse Okulwanirira Serumaga